Omwoyo, Emmeeme n’Omubiri
Bwewazaalibwa “omulundi ogwokubiri” Wali weebuuzizaako ekyakyusibwa mugwe? Bw’otunula mu ndabirwamu ekifaananyi kyo kisigala kye kimu ng’omubiri gwo tegukyuse. Weesanga ng’okyeyisa mu ngeri yeemu era ng’okyawangulwa ebikemo bye bimu ebyakuwangulanga – nga ne mu nsonga eyo tolabawo kyakyuka. Kale bw’otyo ne weebuuza nti, naye ddala
waliwo ekyakyuka bwe nnalokoka?
Eky’okuddamu ekituufu eri ekibuuzo ekyo kikulu nnyo bw’oba ng’onafuna ebyo Katonda by’agaba. Bw’oba nga tolina kumanya kuno okusookerwako, olubeerera ogenda kuba nga weebuuza ebibuuzo ebijjudde okubuusabuusa ebigamba nti: “Naye Katonda asobola atya okwagala omuntu afaanana nga nze?” “Nnyinza ntya okubaako kye nsuubira okufuna okuva ewa Katonda? Nze nga sisaanira kubaako kyenfuna kuva eri ye, kubanga siri mulungi kimala!”
Omwoyo, Emmeeme n’Omubiri lye ssomo erigenda okuyamba okumalawo endowooza embi nokukujjamu ebirowoozo ebijjudde okubuusabuusa ebyonoona okukkiriza kwo.Bwoba ngokalubirizibwa okufuna Katonda byagaba, ekitabo kino toteekwa kukisubwa!